Psalms 86

Okusaba kwa Dawudi.

1 aOtege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire okusaba kwange, onnyanukule,
kubanga ndi mwavu atalina kintu.
2 bOkuume obulamu bwange, kubanga nkuweereza n’obwesigwa.
Katonda wange, ondokole
nze omuddu wo akwesiga.
3 cOnsaasire, Ayi Mukama,
kubanga olunaku lwonna nsiiba nkukoowoola.
4 dOsanyuse omuweereza wo Ayi Mukama;
kubanga omwoyo gwange
nguyimusa eyo gy’oli.

5 eDdala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama;
n’abo bonna abakukoowoola obaagala nnyo.
6Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama;
owulirize eddoboozi erikaabirira ekisa kyo.
7 fBwe nnaabanga mu buzibu nnaakukoowoolanga;
kubanga ononnyanukulanga.

8 gMu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama;
era teriiyo akola bikolwa ng’ebibyo.
9 hAyi Mukama amawanga gonna ge watonda
ganajjanga mu maaso go ne gakusinza;
era ne bagulumiza erinnya lyo ery’ekitiibwa.
10 iKubanga oli mukulu, era okola ebyewunyisa;
ggwe wekka ggwe Katonda.

11 jOnjigirize ekkubo lyo, Ayi Mukama,
ntambulirenga mu mazima go;
ompe omutima omunywevu ogutasagaasagana,
ntyenga erinnya lyo.
12Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange, n’omutima gwange gwonna;
erinnya lyo nnaaligulumizanga emirembe gyonna.
13Okwagala kwo okutaggwaawo kungi nnyo gye ndi;
wawonya omwoyo gwange amagombe.

14 kAyi Katonda, ab’amalala bannumba,
ekibinja ky’abantu abataliimu kusaasira bannoonya okunzita,
be bantu abatakufiirako ddala.
15 lNaye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa,
olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa.
16 mOnkyukire, onsaasire,
ompe amaanyi go nze omuweereza wo;
nze omwana w’omuweereza wo omukazi ondokole.
17Nkolera akabonero akalaga ebirungi byo,
abalabe bange bakalabe baswale;
kubanga ggwe, Ayi Mukama, onnyambye era onzizizzaamu amaanyi.
Copyright information for LugEEEE